Ebiroto n’okwolesebwa eby’omwoyo biletebwa jjetuli okuva eri Ali Waggulu Ennyo.

Omugaso gw’ebiloto kyeki?

Omugaso gw’ebiloto eby’omwoyo kwe kuggumiza ebiragiro eby’okugoberela (Instructions) mu bwongo bwabantu. (Yobu 33:16-18)

Lwaki baganda baffe nebanyinaze baangi bafuuna ebilooto munaku zino envanyuma?

Yoweri 2:28 And it shall come to pass afterward, that I will pour out my spirit upon all flesh; and your sons and your daughters shall prophesy, your old men shall dream dreams, your young men shall see visions.

Byonna ebilooto bya Mwooyo?

Okuddamu ekibuzo ekyo, Nedda. Baibuli eggamba nti ebilooto bijjila wamu n’olufulube lw’emirimu (business). Kino kitegeza nti byetuusako engalo mu lunaku okugeza (okukola, okusoma, okulaba ssineema, enyimba nebirala) byebyaandivibwaako ebiroto byaffe. Ebitongole ebikolera Ku ssayaansi webirowozo by’obwoongo owa setani, kino bikitegera era nebikikozesa eri okuganyilwaamu kwabyo. Yeeno ensonga lwaaki tulina okwegendereza obutamala gagoberela n’okuddukirila nabuli kirooto.(Sir. 34:1-7). Omuluundi gwoka ekirooto wekitekwa munkola, kwekubanga nti kilina obukwate (links to) eri Baibuli. (1Yokana 4:1) era olina okwegendereza (take precaution) bwoba osomesa ekintu okuva mu Baibuli nga kyakubikuliddwa mu kirooto, awo olina kugabana Ku njigiriza ya baibuli (precepts) n’otadda mu kunyonyola biki byewayiseemu mu kirooto kyo.