Please note that I skipped some words. Click the Video up to follow along. For Both Eng and Luganda version, Click here

Nywera, mukwano nywera

Nywera, mukama akumanyi, nebwoobanga osomoka mayengo, nebwoobanga osomoka muliro, kimanye, waliyo olunaku lwalikuvilayo ennaku elidduka, era biingi birikwegatako (Repeat)

Adlibs:
Gwe Kati nywera, nywera
Ddala Mukama akumanyi, ajjamaangu

Nywera Maama, nywera akulaba, byonna byokola afaayo, mukwano guma
Nywera Taata…
Sangula amaziga go, mulinde…

Matumbi budde Maama, laba enkuba ettonya, tolina wossa mutwe, bakugobye munju, nga abaana batudde, ajjamaangu

Nga tolina ayaamba kowoola, Eno ensi kulwana, lutalo x2, luno lutalo kuba kimanye, ajjamaangu tasobola kulekawo

Osomoka mayengo mama
Oli mu lleeba, otambuza binyebwa, otambuza meenvu naye kimanye…

Tasobola kukulekawo… oyo afaayo…
Yatula nti osomoka…

Mukwano ddamu amaanyi Mukama afaayo

Oh..
Nzigulirawo eggulu Mukama nzigulirawo eggulu ontekeko favour (Repeat several times)

Yesu nzigulirawo eggulu ntuuse ndimumaaso go nkuyita ontekeko favour (Ninani nze Yesu?)

Mukama nkulidde mumaziga maangi yaamba nzigulirawo eggulu ontekeko favour

Mhmm… nkuze nga ffene akulidde ku kkubo bankuba mpi kale tondeka

Matumbi budde nga abalogo betala nzigulirawo eggulu onkweke mu favour

Hey matumbi budde nga ababbi bannonya nzigulirawo eggulu ontekeko favour (Nkusabye tondeka Mukama…)

Yesu nzigulirawo eggulu nga tewali ayaamba. Nzigulirawo eggulu ontekeko favour (Naange…)

Mukama ndi mwaana wa Naamu, ndi mwana wa munaku, Nalongo wabwe, tondeka Mukama

Hey nzigulirawo eggulu Mukama nzigulirawo eggulu ontekeko favour

Nkusabye nzigulirawo eggulu nga ndi mu bbanga nzigulirawo eggulu nga ndi mu mmottoka… (Yesu wange)

Hey bogedde biingi amaanyi gampedde nzigulirawo eggulu ompambatire (nkumakuma daddy, oliwa?)

Yesu nzigulirawo eggulu ondele Mukama mu mikono Taata egyamuumba

Taata twali mu eddenni n’omuumba Mukama nzigulirawo eggulu tondeka Kabaka Yesu

Nzigulirawo Ssebo, nkuyita nzigulira leero nzize gyoli Taata (Munaange)

Mukama mpapula z’amawulire, Nkusabye ontaase nzigulirawo eggulu Ssebo tondeka (baandi bubi Mukama)

Nzigulirawo eggulu nga ndi mu leeba nzigulirawo eggulu nsomosa Ssebo…

Mukama nze amaanyi gampedde, naange amaanyi gampedde

Nange! Ontekeko favour Ontekeko favour (Repeat)

Favour wajiwa Danyeri, favour wajiwa ne Esther, favour wajiwa Mariam, favour wajiwa ne Yacob, wajiwa Mordecai Taata, favour wajiwa ne Joseph, favour wajiwa ne eliyah, favour wajiwa ne Musa, favour wajiwa ne Alooni, favour wajiwa baanji Ssebo, ne Kuulo wamuwa favour… Mukama nzize wooli…

Mukama nzize wooli (…) Njagala favour
Yoka yenankuma yenantasa, lengera abalabe bannonya, laba baandi bubi x2 …
(Yesu naayita Ani?)

Ndi mwana wa wamukazi, Mukama silina maanyi…
Yesu ntekako favour
Njagala favour…


Tondeka Kugenda kuddayo ekka ai Mukama nga bwenzize leero (Repeat)

Addlibs:
Nedda nedda jangu
Tondeka Kugenda mukwano gwange, leero nzize gyoli (Yesu wange)

Katonda wa ba Jjajaange Ibrahim, Isaka wamu ne Yakobo gwempita (Tondeka munaange)

Wulira entunnusi z’omutima zimbwatuka tondeka Ssebo, (Kabaka wange)

Wulira eddobozi ly’Omufirissuuti lirekaana, golokoka jjangu onwanile (Kabaka Yahweh)

Nze tondeka kugenda nga bwenzize, nzize gyoli nantamegwa wange, yegwe

Tondeka kugenda kitange yegwe eya mpita munsi Eno ennene…

Wulira entunnunsi zange zibwatuka olw’amabaanja n’okwelarikirila (nyamba)

Bwe nnali nkaaba mubuliri, kabaka gwe wambika n’ongumya Jjangu tondeka neleero…

Yesu wange ebinsobera byonna mbileta nneleero ntuuse, ggeyyena ngitya

Mukama mu ggeyyena silinayo kifo, Yesu tondekawo munsi Eno bwagugga Yahweh Yahweh

Amaziga maangi genkaabye munange Yesu wange kale tondeka

Wulira olwaleelo nga nkaaba, omutima gwange gusinda gukunoonya Mukama ndeese n’abaana awamu n’omwami wange

Walabikira Musa ng’aali kulussozi bimusobedde, nange Jjangu

Mu kinnya mbaddeyo Mukama, nekulussozi mbaddeyo Kabaka… yonna ngenze ntuseeyo nkunnoonya

Mukama, Katonda wa Babirye, yammanya Babirye mulubuto lwanyabo, Ssebo tondeka Mukama

Mukama Tondeka!
(Nvilaayo…) Repeat

Addlibs:
Tondeka!
Yesu nvilaayo x2
Mukama ekimala kimala, Abalogo nga bannonya, Ab’emmuundu nganabo bannonya, abasamiize baabo banoonya, abebikolimo baabo banoonya woah…

Sangula amaziga gasnge, Sangula amaziga ga Maama omponye obusungu bwa Taata, mponya ebigambo bya Taata…
Njagala onvileeyo…

Ndilira Mama wange, ndilira abaana bange, ndilira Pretty wange, ndilira Ivan wange, laba laba George, ndilira Eva ne Jjeni, ndilira Stella wange, ndilira abagaanda bange, ndilira banyinanze, tonjiiwa ndabe kubazukulu oh woah…


Omusaayi gwa Yesu gwoogela nnyo nzize nange gunjoggelere leero (Repeat)

Addlibs:
Abaange gwoogela
Omusaayi gwa Yesu gwoogela nnyo nzize nange gunjoggelere leero

Gwayogela kuluri nga baali bantwala abasamiize okunzita nekuluno ntaasa (Ngujjulira)

Omusaayi gwa Yesu gussasula ebbanja, gwansassulira Babirye gumira kunze

Abaange! Ffe abaana ba Mukama tetulina maanyi, Musaayi gwa Yesu ge maanyi agasiinga

Omusaayi gwa Yesu gwoogela nnyo mu accident gubeelawo okuwonya

Hey musaayi gwa Yesu gutuuka mu lleeba ng’olemereddwa okusindika omwana

Abange omusaayi gwa Yesu gwoogela nnyo ng’abalogo betala baagala kuta

Abaange gwoogela okusiinga emandwa, n’emizimu, ebyonkoola, n’ebyekika omusaayi gusiinga

Omusaayi gwengaamba gwa Yesu mwana wa Kabaka tegulinako bbala. Alleluia!

Abaange omusaayi gwa Yesu gwoogela nnyo nga tolina mwana, guzaaza nabaguumba (Gwengaamba guwonya nendwadde tegulemwa)

Omusaayi gwa Yesu bakututte mu kkooti, Kati gukowoole tegulemwa abaange

Omusaayi gwengaamba bweyagaamba Kiwedde gwamalawo byonna tegulemwa mbeera

Bamubamba wagulu enyo bambi nakaaba, naayiwa omusaayi ogusinga Taata (Munaaye Webale)

Wendaba gyenvudde nandiyise ani nze? Musaayi gunyambye Webale Mukama

Wembeera sikyayinza ndi mwana wa muntu musaayi negujja negumponya abaange… Yahweh!

Nebwannali nzilika ngantuuse muntaana musaayi gwagaamba, Babirye vvayo

Banange Omusaayi gwa Yesu ogwo, musaayi gwengaamba…. Yeah gunjoggelere

Abaange gunjoggelere leero… (Repeat) Yatula

Nga bandoga belawo omusaayi gwa Yesu
Nga bangeya belawo omusaayi gwa Yesu, nga silina mulimu, nga silina baana, nga tewali awulira
Nga ababbi bannumbye, nga balina emmuundu maama, abaange nga balina amasasi, nga bankubye ne ttalo, ngabagala okunsala mbu nffe, ngabagala okunywa omusaayi gwange, gunjoggelere leero… Yahweh…! Yahweh…! Yahweh…!

Omusaayi gwa Yesu, abaange tegulemwa mbeera,
Musaayi gunjoggelere…

Nga oyagala kuwona, Yatula gunjoggelere leero, mukamwa kentaana, mukamwa k’emisota, mukamwa ka ttimba, mukamwa k’empologoma, mubiggali, ebyabalongo

Yatula gunjoggelere leero…
Nze ndijjulira obuwanguzi bwange, buvwa wa Yesu mumusaayi gwe. Kumusalaba yagamba Kiwedde
Kati tozirika mukowoole omusaayi gwe.
Gwe alwadde nsaba ogukowoole
Mulago mu ddwaliro nsaba ogukowoole, Kololo ddwaliro nsaba ogukowoole, Nakasero ddwaliro nsaba ogukowoole, gwe ali mu Kanisa nsaba ogukowoole, tolina Ssente nsaba ogukowoole, ngatolina baana nsaba ogukowoole, nga tolina Ssubi nsaba ogukowoole,

Leero tugukowoole, naawe gukowoole. Kiiwa gukowoole, Tonny Tonny gukowoole, abasumba tugukowoole…


Ddala ono aliwa?

Aliwa Katonda wa Israeli eyakwata ddagoni namutemako emikono? (Repeat)

Addlibs:
Abaange aliwa Katonda wa Israeli eyakwata ddagoni namutemako ebigere?

Aliwa Katonda wa Israeli eyakwata ddagoni namutemako ensiingo? (Ddala aliwa oyo?)

Aliwa Katonda wa Israeli eyakwata Dawuudi namufuula Kabaka? (Akola ebineene abaange)

Mbuuza aliwa Katonda wa Israeli eyakwata Yusuffu namufuula Kabaka? (Gwenjagala nange nze oyo gwenoonya)

Abaange aliwa Katonda wa Israeli eyakwata Esther namufuula Queen? (Gwenjagala nange, nze oyo gwenoonya)

Nantamegwa alagawa Katonda wa Israeli eyasuula abaange ebisenge bya Yeriko?

Abaange yalagawa Katonda wa Israeli eyawonya Danyeri empologoma okumulya Taata? (Nange gwenjagala abaange)

Abaange yalagawa Katonda wa Israeli eyayawula enyaanja emyuffu abaange? (Yakobo nasomoka ku lukalu)

Yalagawa Katonda wa Israeli eyanyenya Sinai naavaamu omuliro? (Nze gwenjagala nange)

Mbuuza yalagawa Katonda wa Israeli banange eyayimusa Mariamu maama? (Omucaala atamanyi musajja?)

Aliwa Katonda wa Israeli gwengaamba alwana entalo?

Aliwa? Mbuuza aliwa Katonda wa Israeli eyatema omutwe gwa Goliath? Banange!

Aliwa, aliwa? oyo gwembuza naange Katonda owaffe eyazaza Kaana
Ddala yalaga wa?…

Mbuuza aliwa Katonda owamaanyi eyayimiriza enjuba abaange? (Nantamegwa wange)

Aliwa Katonda wa Isiraeri nantamegwa atambuza abalema, yalagawa naye, nze gwenjagala olwaleero, Nina byenkoye…

Aliwa oyo gwenoonya nange eyakka mukikoomi Kya Shadrach, Abedinego, ne Daniel?

Ddagoni! Bamutemako omutwe!
Bamutemako emikono, tumutemako ebigere (Repeat)

Dagoni bamutemako emikono
Olwaleero tumutemako emikono
Tumutemako ebigele
Tumutemako omutwe
Kati muteme, Tema Tema…

Ddagoni w’obwaavu oyo ng’otema,
Ddagoni w’embeera oyo ng’otema,
Ddagoni w’emiindi
Tumutemako omutwe
Tumutemako ebigele, Oyo ddagoni tumujjamu amaaso,
Tumujjamu ebyenda, tumusikamu oluliimi

Tumujjamu amaaso, ezo enjala tumusikamu leero
Tumutemako ebigele
Back bone tujikutula
Mukokore kaawa tumutemeko ebigele, Tema…
Lwana mulokore, Tema Tema…..

Ddagoni wa Cancer, ddagoni wa Sirimu,
Ddagoni wa amaguumba agaluma, ddagoni we nsimbu, emisujja ejiluma oyo abeela ddagoni, emitwe egiluma, tumutemako ebigele


Mponya endagaano zessamaanya omalewo obusibe mubulamu bwange (Repeat)

Addlibs:

Sumulura amagenda gange

Taata endagaano zabakadde bange yamba amagenda gange

Mponya endagaano z’okusamila taasa amagenda gange

Ez’abalongo (Nyamba)
Ez’ebigambo (Zintwala)…
Ez’omusaayi mponya Mukama Ssebo)
Waliyo endagaano z’ebakola siliyo, nyamba

Isayah 28:18, wagamba olisazaamu endagaano eyo Okudda wagamba teliyimirila

Ez’okuffa amaangu
Ez’obuyinike,
Ez’obutafumbirwa, eza polygamy
Zennakola bwenali ndoota nendya emmele
Z’enakola…
Waliwo endagaano z’ebakola nga ndi baby, ndi muto nebase, kati zogela, zinjigganya

Bwebasaddaka ebisolo (saliyo saliyo)

Ku luuyi lwabamaama bange, bataata bange,
Bassenga ne ba Kojja
nebwenfuba nnyo! Zogera…

Ez’omusaayi,
Ez’ebigambo
Obutasaba
Ez’okugeya
Ez’kulimba
Ebimele bya baffu
Ebimele by’okulumbe
Eza polygamy
Endagaano ne Kawuula
Ez’okusamiila
Ez’abaloongo
Obukumpanya
Okunyaga abantu bo
Zennakola nebase (nga simanyi)
We nali ndi baby, ndagano banjalula
Obulyazamaanya
Okubba ekimu ekyekummi
Olugambo
Endowoza
Eza Jjajaange
Ez’amageeda gaange
Eza Ssenga wange
Eza Taata wange
Eza Maama
Zengaamba zili kulinya Lyange
Taasa abaana bange endagaano ezo kazikome kunze
Zimaleewo n’omusaayi gwo
Ekimala kimala x2
Ssangula n’omusaayi gwo, na amaanyi go Sebbo
N’okussasira kwo
Wagamba oli sassira baangi
Nange nteeka mwabo
Zisangule zitwala
Nnali muto nnyo
Ssebo nkusaba onsasire
Nali nebase, nali mu kibaya
Banjalula naye nyamba